1 Kings 11:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana we nzija kumuwa ekika kimu, Dawudi omuweereza wange asigaze omumuli mu maaso gange ennaku zonna mu Yeruzaalemu, ekibuga kye neerondera erinnya lyange gye liba libeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekika ekimu ndikiwa mutabani we, omuddu wange Dawudi abeerenga n’ettabaaza mu maaso gange mu Yerusaalemi, ekibuga kye neeroboza olw’erinnya lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mutabani we ndimuwa ekika kimu, Dawudi omuddu wange abeerenga n'omuntu ow'omuzadde lye ennaku zonna mu Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza okusinzizangamu erinnya lyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutabani we ndimulekera Ekika kimu, ndyoke mbenga bulijjo n'ow'ezzadde lya Dawudi omuweereza wange, afuga mu Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza okuba ekifo mwe banansinzizanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mutabani we ndimuwa ekika kimu, Dawudi omuddu wange abeerenga n'ettabaaza ennaku zonna mu maaso gange mu Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza okuteeka omwo erinnya lyange.