1 Kings 11:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ggwe nzija kukuddira obeere kabaka ku byonna omwoyo gwo bye gwegomba; olifuga Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula, ggwe ndikutwala, era olifuga wonna omutima gwo gye gulisiima, era olibeera kabaka wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikutwala, n'oba kabaka wa Isiraeri, n'ofuga nga bw'oyagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe ndikutwala n'oba kabaka wa Yisirayeli, n'ofuga nga bw'oyagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikutwala, naawe olifuga nga byonna bwe biriba emmeeme yo by'eryagala, era oliba kabaka wa Isiraeri.