1 Kings 11:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni bwe yakaddiwa, abakazi ne bawugulira omutima gwe ku balubaale; omutima gwe tegwemaliza Mukama Katonda we ng'ogwa kitaawe Dawudi bwe gwali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bisera bya Sulemaani eby’obukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani we yakaddiyira ng'abakazi be bakyusizza omutima gwe nga asinza bakatonda abalala: omutima tegwanywerera ku Mukama Katonda we nga ogwa Dawudi kitaawe bwe gwali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
We yakaddiyira nga bakazi be bawugudde omutima gwe okusinza balubaale, ne gutanywerera ku Mukama, Katonda we, ng'ogwa Dawudi kitaawe bwe gwamunywererako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olwatuuka Sulemaani ng'akaddiye bakazi be ne bakyusa omutima gwe okugoberera bakatonda abalala: omutima gwe ne gutatuukirira eri Mukama Katonda we nga bwe gwali omutima gwa Dawudi kitaawe.