1 Kings 11:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era bw'atyo bwe yakolera ne bakazi be bonna abagwira abaasinzanga n'okwokera obubaani balubaale baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo n’abakolera bw’atyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe yazimbira bw'atyo bakazi be bannamawanga ebifo gye baayoterezanga obubaane ne bawaayo ssaddaaka eri bakatonda baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bw'atyo bwe yakolera bakazi be bonna abagwira abaayoterezanga obubaane, era abaawangayo ebitambiro eri balubaale baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe yakolera bw'atyo bakazi be bonna bannaggwanga abaayotezanga obubaane ne bawaayo ssaddaaka eri bakatonda baabwe.