1 Kings 12:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abavubuka abaakula naye, ne bamugamba nti: “Abantu bano abakugamba nti: ‘Kitaawo yatussaako ekikoligo ekizito, ggwe kendeeza ku kikoligo kyaffe,’ ggwe bagambe nti: ‘Kannaswi kange kanene okusinga ekiwato kya kitange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abavubuka abaakulira awamu naye ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abo abakusabye nti, ‘Okendeeze ku kikoligo kitaawo kye yabateekako nti, “Engalo yange eya nasswi esinga ekiwato kya kitange obunene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abavubuka abaakulira awamu naye ne bamuddamu nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu abo abakugambye nti Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe kituwewulire, bagambe nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abavubuka abaakula naye ne bamugamba nti: “Abantu abo abakugambye nti: ‘Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe tukusaba okituwewuleko,’ bagambe nti: ‘Akagalo kange aka nasswi kanene okusinga ekiwato kya kitange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abalenzi abaakulira awamu naye ne bamugamba nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu bano abakugambye nti Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye ggwe kiwewule gye tuli; bw'otyo bw'oba obagamba nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange.