1 Kings 12:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kitange yabassaako ekikoligo ekizito, nze ekikoligo kyammwe ŋŋenda na kukyongerako obuzito. Kitange yababonerezanga na buswanyu, nze nzija kubabonerezanga na njaba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nnaabakangavvulanga n’enjaba ez’obusagwa.” ’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba nga kitange yababinika ekikoligo ekizito, nze nja ku kyongerako obuzito. Oba yabakangavvuzanga na nkoba, nze nja kubakangavvuzanga na njaba ez'obusagwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno oba nga kitange yabassaako ekikoligo ekizito, nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo, naye nze nja kubakangavvulanga na mbooko eriko amalobo agasuna.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nno kubanga kitange yababinika ekikoligo ekizito, nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa.