1 Kings 12:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba ng'abavubuka bwe baali bamuwadde amagezi nti: “Kitange yazitoya ekikoligo kyammwe, nze nno nzija kukizitoya n'okusingawo; kitange yabakubisanga buswanyu, naye nze nzija kubakubisa njaba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agoberera ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yafuula ekikoligo kyammwe okuba ekizito, naye nze nnaayongera ku kikoligo kyammwe. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nno nze nnaabakangavvula na njaba ez’obusagwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'akolera ku magezi abavubuka ge bamuwa, ng'ayogera nti Kitange yafuula ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akolera ku magezi abavubuka ge baamuwa, n'agamba abantu nti: “Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo, naye nze nja kubakangavvulanga na mbooko eriko amalobo agasuna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba ng'okuteesa kw'abalenzi bwe kwali, ng'ayogera nti Kitange yafuula ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa.