1 Kings 12:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka bw'atyo teyawuliriza bantu, kubanga yali ntegeka ya Mukama, atuukirize ekigambo kye kye yali agambye Yerobowamu mutabani wa Nebati ng'ayita mu Akiya ow'e Silo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’atawuliriza bantu. Bino byonna byabaawo Mukama atuukirize ekigambo kye yayogera eri Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'atawuliriza bantu; kubanga kyali kigambo Mukama kye yaleeta atuukirize ekigambo kye Mukama kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati nga akiyisa mu Nnabbi Akiya Omusiiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo kabaka n'atawuliriza bantu kye baagala. Mukama, Katonda, ekyo kye yayagala, alyoke atuukirize kye yagamba Yerobowaamu ng'ayita mu Ahiya Omusiilo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'atawulira bantu; kubanga kyali kigambo Mukama kye yaleeta anyweeze ekigambo kye Mukama kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati mu mukono gwa Akiya Omusiiro.