1 Kings 12:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yenna bwe yalaba nga kabaka agaanyi okubawulira, ne bamwanukula, ne bagamba nti: “Tulina mugabo ki mu Dawudi, yadde busika ki mu mutabani wa Yesse? Yisirayeli, weddire mu weema yo, naawe Dawudi, weerabiririre ennyumba yo.” Abayisirayeli ne beddirayo mu weema zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti, “Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi, oba kitundu ki kye tulina mu mutabani wa Yese? Mudde mu weema zammwe ayi Isirayiri! Weerabirire ggwe ennyumba ya Dawudi.” Awo Abayisirayiri ne beddirayo ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nti Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? So tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde mu weema zammwe, ayi Isiraeri: ab'ennyumba ya Dawudi beefuge bokka. Awo Isiraeri ne baddayo ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bonna bwe baalaba nga kabaka tabawulirizza, ne bamuddamu nti: “Kiki kye tugabana ku Dawudi? Tetulina kye tusikira ku mutabani wa Yesse. Kale Abayisirayeli, tugende, buli muntu yeddireyo ewaabwe, n'ab'ennyumba ya Dawudi beerabirire.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nii Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? so tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde mu weema zammwe, ai Isiraeri: labirira nno ennyumba yo ggwe, Dawudi. Awo Isiraeri ne bagenda mu weema zaabwe.