1 Kings 12:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Rekobowamu n'atuma Adoramu, eyakuliranga akasanvu, kyokka Yisirayeli yenna n'amukuba amayinja n'afa. Kabaka Rekobowamu n'ayanguwa mangu n'alinnya ekigaali n'addukira mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lekobowaamu yalagira Adolaamu eyakuliranga emirimu egy’obuwaze okugenda eri Abayisirayiri, okubalagira eby’okukola, naye ne bamukuba amayinja ne bamutta. Naye ye Kabaka Lekobowaamu n’awona, n’alinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Adolamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze; Abaisiraeri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka n'ayanguwa okulinnya mu ggaali ye n'adduka n'addayo mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Rehobowaamu n'atuma mu Bayisirayeli Hadoraamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze. Abayisirayeli ne bamukuba amayinja, ne bamutta. Kyokka ye kabaka n'ayanguwa okwesogga ekigaali kye, n'addukira e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Adolamu eyali omukulu w'omusolo; Isiraeri yenna ne bamukasuukirira amayinja n'okufa n'afa. Kabaka n'ayanguwa okulinnya mu ggaali ye okuddukira mu Yerusaalemi.