1 Kings 12:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yerobowamu mutabani wa Nebati, yali akyali mu buwaŋŋanguse mu Misiri, ng'adduse Solomoni; bwe yawulira amawulire ago, n'ava mu Misiri n'akomawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yawulira ekyo, ng’ali e Misiri, gye yali yeewaŋŋangusirizza, n’akomawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yerobowaamu mutabani wa Nebati n'akiwulira ng'akyali mu Misiri gye yali addukidde okuwona kabaka Sulemaani, era nga gy'abeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yerobowaamu mutabani wa Nebaati n'akiwulira ng'akyali mu Misiri gye yali addukidde okuwona Kabaka Solomooni, era nga gy'abeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe Yakiwulira; (kubanga yali akyali mu Misiri gye yali addukidde okuva eri kabaka Sulemaani, era Yerobowaamu n'atuula mu Misiri),