1 Kings 12:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yenna bwe yawulira nga Yerobowamu akomyewo, ne bamutumya mu lukuŋŋaana, ne bamufuula kabaka wa Yisirayeli yenna; tewaaliwo yagoberera Dawudi okuggyako ekika kimu kyokka ekya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri bonna bwe baawulira nti Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumira ajje eri ekibiina, ne bamutikkira okuba kabaka wa Isirayiri yonna. Ekika kya Yuda kyokka kye kyasigala nga kigoberera ennyumba ya Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isiraeri yenna bwe baawulira nga Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumya najja eri ekibiina, ne bamufuula kabaka wa Isiraeri yenna: ekika kya Yuda kyokka kye kyanywerera ku be nnyumba ya Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'omu Yisirayeli yonna bwe baawulira nga Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumya okujja eri ekibiina ky'abantu, ne bamufuula kabaka wa Yisirayeli yonna. Ekika kya Yuda kyokka kye kyanywerera ku b'ennyumba ya Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Isiraeri yenna bwe baawulira nga Yerobowaamu akomyewo, ne batuma ne bamuyita okujja eri ekibiina, ne bamufuula kabaka wa Isiraeri yenna: tewaali eyagoberera ennyumba ya Dawudi wabula ekika kya Yuda kyokka.