1 Kings 12:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rekobowamu bwe yajja e Yeruzaalemu n'akuŋŋaanya ennyumba yonna eya Yuda, n'ekika kya Benyamiini, abasajja abatabaazi abalondobe akasiriivu kamu mu emitwalo munaana, agende alwanyise ennyumba ya Yisirayeli, akomyewo obwakabaka ewa Rekobowamu mutabani wa Solomoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda yonna, n’ekika kya Benyamini, abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, okulwanagana n’ennyumba ya Isirayiri, asobole okweddiza obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya mu kika kya Yuda n'ekya Benyamini abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana (180,000), okulwanyisa Abaisiraeri okubakomyawo mu bwakabaka bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Rehobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemu, n'akuŋŋaanya mu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana, okulwanyisa Abayisirayeli okubakomyawo mu bwakabaka bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba yonna eya Yuda n'ekika kya Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwakabaka Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani.