1 Kings 12:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Omukama bwati bw'agamba: Temugenda kulwanyisa baganda bammwe abantu ba Yisirayeli; buli musajja addeyo ewuwe, kubanga kino nze nkikoze.’ ” Baawulira ekigambo ky'Omukama, ne batagenda ng'Omukama bwe yali abalagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwambuka kulwana ne baganda bammwe, Abayisirayiri. Buli omu ku mmwe addeyo eka kubanga kino nze nkisazeewo.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo ewaabwe, nga Mukama bwe yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe abaana ba Isiraeri: muddeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ekigambo kya Mukama ne baddayo ne bagenda ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Mukama agamba nti temulumba baganda bammwe, Bayisirayeli bannammwe, kubalwanyisa. Muddeeyo buli omu mu maka ge, kubanga ebyo ebyabaawo, Nze nayagala bibe bwe bityo.’ ” Awo ne bagondera ekiragiro kya Mukama, ne baddayo, nga Mukama bwe yabalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe abaana ba Isiraeri: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ekigambo kya Mukama ne baddayo ne bagenda ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.