1 Kings 12:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bwe banaayambukanga ne baweereza ebitambiro mu Kiggwa ky'Omukama mu Yeruzaalemu, omutima gw'abantu bano gujja kudda eri mukama waabwe Rekobowamu, kabaka wa Yuda; bajja kunzita, badde eri Rekobowamu kabaka wa Yuda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bano bwe banayambukanga okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi, olunaku olumu emitima gyabwe giyinza okukyukira mukama waabwe, Lekobowaamu, kabaka wa Yuda. Balinzita ne badda gy’ali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bano bwe banaagendanga mu Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama mu Yeekaalu, omutima gwabwe guyinza okuwuguka ne bakyukira mukama waabwe Lekobowaamu kabaka wa Yuda, nze ne banzita ne badda gyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bano bwe banaayambukanga e Yerusaalemu okuwaayo ebitambiro eri Mukama mu Ssinzizo, omutima gwabwe gwandikyukira mukama waabwe Rehobowaamu kabaka wa Buyudaaya, nze banzite, badde gy'ali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abantu bano bwe banaayambukanga okuweerayo ssaddaaka mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, kale omutima gw'abantu bano gulikyukira nate mukama waabwe, Lekobowaamu kabaka wa Yuda; kale balinzita nze, ne baddayo eri Lekobowaamu kabaka wa Yuda.