1 Kings 12:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yeebuuza, n'akola obuyana bubiri obwa zaabu, n'agamba abantu nti: “Mu Yeruzaalemu mugenzeeyo ekimala; balubaale bo baabo, ayi Yisirayeli, abaabaggya mu nsi y'e Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka Yerobowaamu n’aweebwa amagezi okukola ennyana bbiri eza zaabu. N’agamba abantu nti, “Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusaalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu Misiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka bwe yamala okulowooza bwatyo, n'akola ennyana bbiri eza zaabu: n'agamba abantu ba Isiraeri nti Tekikyabeetaagisa kugendanga Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka. Laba bano be bakatonda bammwe abaabaggya mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka bwe yamala okukirowoolereza, n'akola ennyana bbiri eza zaabu, n'agamba abantu nti: “Mukaluubirirwa nnyo okwambukanga e Yerusaalemu. Abange Abayisirayeli, bano be balubaale bammwe abaabaggya mu nsi y'e Misiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'alyoka ateesa ebigambo, n'akola ennyana bbiri za zaabu: n'abagamba nti Kinaabalemanga okwambukanga e Yerusaalemi; laba bakatonda bo, ai Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri.