1 Kings 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamutumyayo. Yerobowamu n'ajja n'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli ewa Rekobowamu, ne bamugamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ne batumira Yerobowaamu, ye n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bagenda ewa Lekobowaamu, ne bamugamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne batumya Yerobowaamu najja; ye n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bagenda ne boogera ne Lekobowaamu nti
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamutumya ajje. Bwe yajja, ye n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne bagenda ne bagamba Rehobowaamu nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne batuma ne bamuyita; awo Yerobowaamu n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bajja ne boogera ne Lekobowaamu nti