1 Kings 12:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo ne kiba kyesittazo ekyasuula abantu mu kibi; abantu baatambulanga ne bagenda n'ewala nga mu Daani okusinza mu maaso g'akamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekintu ekyo ne kiba kibi nnyo, kubanga abantu baatuuka n’okugenda e Ddaani okusinza ekifaananyi ky’ennyana ekyali kiteekeddwa eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekigambo ekyo ne kiba ekibi: kubanga abantu baagendanga ne basinza ennyana eyali e Ddaani n'abalala ne basinza eyali e Beseri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekintu ekyo ne kireetera abantu okukola ekibi, kubanga baagendanga okusinziza ne mu maaso g'eyo eyali e Daani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekigambo ekyo ne kiba ekibi: kubanga abantu baagendanga okusinziza mu maaso g'emu nga bagenda e Ddaani.