1 Kings 12:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yassaawo embaga enkulu ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano mu mwezi ogwomunaana, nga lufaananako n'embaga ekuzibwa mu Yuda, n'atambira ku mwaliiro. Bw'atyo bwe yakola e Beteli, n'atambirira obuyana bwe yali akoze. Mu Beteli n'assaayo bakabona ku bifo ebigulumivu bye yali akoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola embaga ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana, okufaanana n’embaga ebeerawo mu Yuda, era n’awaayo ebyokebwa ku kyoto. Kino yakikola mu Beseri ng’awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola. N’assa bakabona mu bifo ebigulumivu bye yali akoze e Beseri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yerobowaamu era n'ateekawo embaga, ebeerengawo mu mwezi ogw'omunaana ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano, nga bwe bakolanga mu Yuda. N'agenda e Beseri eri ekyoto n'awaayo ssaddaaka eri ennyana gye yakola: era n'asaawo bakabona b'ebifo ebigulumivu bye yakola e Beseri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yerobowaamu era n'ateekawo embaga, ebeerengawo mu mwezi ogw'omunaana, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano, nga gye baabanga nayo mu Buyudaaya. N'ayambuka ku alutaari e Beteli n'awaayo ebitambiro eri ennyana ze yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Yerobowaamu n'assaawo embaga mu mwezi ogw'omunaana ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano okufaanana embaga eri mu Yuda, n'alinnya eri ekyoto; bw'atyo bwe yakolera mu Beseri ng'awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola: n'ateeka mu Beseri bakabona b'ebifo ebigulumivu be yassaawo.