1 Kings 12:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwomunaana lwe yali yeesaliddewo yekka, yayambuka ku mwaliiro gwe yali azimbye mu Beteli, n'atambira. Bw'atyo n'ateerawo abantu ba Yisirayeli embaga enkulu, n'ayambuka ku mwaliiro n'anyookeza obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogw’omunaana gwe yeerondera, n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kye yazimba e Beseri. Era n’assaawo embaga Abayisirayiri gye baakuumanga, n’ayambukanga ne ku kyoto okuwaayo ebyokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agenda eri ekyoto kye yazimba e Beseri ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omunaana, gwe mwezi gwe yagunja mu mutima gwe ye; n'ateraawo Abaisiraeri embaga, n'alinnya eri ekyoto, n'anyokeza obubaane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omunaana, omwezi ye yennyini gwe yalonda ku lulwe, n'ayambuka ku alutaari gye yazimba e Beteli. N'ateerawo Abayisirayeli embaga, n'ayambuka ku alutaari, n'anyookeza obubaane.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alinnya eri ekyoto kye yali azimbye mu Beseri ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omunaana, gwe mwezi gwe yagunja mu mutima gwe ye; n'assaawo embaga eri abaana ba Isiraeri, n'alinnya eri ekyoto okwoteza obubaane.