1 Kings 12:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Rekobowamu n'ateesa n'abakadde abaaweerezanga Solomoni kitaawe ng'akyali mulamu, n'agamba nti: “Mumpa magezi ki bwe nnaayanukula abantu bano?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Lekobowaamu n’agenda ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani, mu biseera bwe yali ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki, ku nsonga abantu bano gye bansabye?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bantu abakulu, abaawanga Sulemaani kitaawe amagezi ng'akyali mulamu. N'ababuuza nti Magezi ki ge mumpa? Abantu bano mbaddemu ntya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Rehobowaamu ne yeebuuza ku bantu abakulu, abaawanga Solomooni kitaawe amagezi ng'akyali mulamu. N'ababuuza nti: “Magezi ki ge mumpa? Abantu bano mbaddemu ntya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka Lekobowaamu n'ateesa ebigambo n'abakadde abaayimiriranga mu maaso ga Sulemaani kitaawe bwe yali ng'akyali mulamu ng'ayogera nti Magezi ki ge mumpa okubaddamu abantu bano?