1 Kings 12:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamugamba nti: “Olwa leero bw'onooba omuweereza w'abantu bano, n'obaweereza, n'obaddamu bulungi, baliba baweereza bo ennaku zonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Leero bw’onoobeera omuwulize eri abantu bano ne weetoowaza, n’obaweereza, era n’obaddamu n’eggonjebwa, kale banaabeeranga baweereza bo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuddamu nti Bw'onokkiriza okuba omuweereza w'abantu bano olwaleero, n'okkiriza okubagondera, n'obaddamu ebigambo ebirungi, kale olwo banaabanga baddu bo ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Bw'onokkiriza okuba omuweereza w'abantu bano olwaleero, n'okkiriza okubagondera, n'obaddamu ng'okozesa ebigambo ebirungi, olwo banaabanga baweereza bo ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Bw'onooyagala okuba omuddu eri abantu bano leero n'oyagala okubaweereza n'obaddamu n'obagamba ebigambo ebirungi, kale bo banaabanga abaddu bo ennaku zonna.