1 Kings 12:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Rekobowamu n'asambajja amagezi abakadde ge baali bamuwadde, n'agenda yeebuuza ku bavubuka bwe baakula, abaali bamuweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Lekobowaamu n’atawuliriza magezi abakadde ge baamuwa, n’agenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, era nga be bamuweereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, ne yeebuuza ku bavubuka beyakula nabo abaamuweerezanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Kabaka Rehobowaamu n'aleka amagezi g'abantu abakulu ge baamuwa, ne yeebuuza ku bavubuka abaakula naye era abaali bamuweereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'ateesa n'abalenzi abaakulira awamu naye abaayimirira mu maaso ge.