1 Kings 13:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wabaawo omuntu wa Katonda eyava mu Yuda, ng'Omukama y'amugambye, n'ajja e Beteli. Yerobowamu yali ayimiridde ku mwaliiro ng'anyookeza obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja wa Katonda n’ajja e Beseri okuva mu Yuda olw’ekigambo kya Mukama, n’asanga Yerobowaamu ng’ayimiridde mu maaso g’ekyoto ng’ateekateeka okwotereza obubaane.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo, ne wajja omusajja wa Katonda ng'ava mu Yuda olw'ekigambo kya Mukama n'ajja e Beseri: awo Yerobowaamu yali ng'ayimiridde awali ekyoto okunyookeza obubaane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja wa Katonda n'ava mu Buyudaaya nga Mukama ye amulagidde, n'ajja e Beteli. N'asanga Yerobowaamu ng'ayimiridde awali alutaari, okunyookeza obubaane.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, laba, ne wajja omusajja wa Katonda ng'ava mu Yuda olw'ekigambo kya Mukama n'ajja e Beseri: awo Yerobowaamu yali ng'ayimiridde awali ekyoto okwoteza obunaane.