1 Kings 13:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno waaliyo omulanzi omukadde eyabeeranga mu Beteli; batabani be ne bajja gy'ali, ne bamunyumiza byonna omuntu wa Katonda bye yali akoze mu Beteli ku olwo. Baabuulira kitaabwe n'ebigambo bye yali agambye kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro ebyo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri, eyategeezebwa batabani be ebyo byonna omusajja wa Katonda bye yali akoze ku lunaku olwo, ne bye yali agambye kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri, batabani ne b'ajja: ne bamubuulira byonna omusajja wa Katonda bye yali akoze mu Beseri ku lunaku olwo, ne baamubulira n'ebigambo bye yagamba kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, waaliwo omulanzi omukadde eyali abeera mu Beteli. Omu ku batabani be n'ajja n'amubuulira byonna omusajja wa Katonda bye yali akoze mu Beteli ku lunaku olwo. Ebigambo bye yagamba kabaka nabyo abaana ne babibuulira kitaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri; omu ku batabani be n'ajja n'amubuulira ebikolwa byonna omusajja wa Katonda bye yali akoledde mu Beseri ku lunaku olwo: ebigambo by'agambye kabaka nabyo ne babibuulira kitaabwe.