1 Kings 13:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaabwe n'abuuza nti: “Yakutte kkubo ki?” Batabani be ne bamulaga ekkubo omuntu wa Katonda eyali avudde mu Yuda lye yali akutte.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitaabwe n’ababuuza nti, “Akutte kkubo ki?” Awo batabani be ne bamulaga ekkubo omusajja wa Katonda ow’e Yuda ly’akutte.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitaabwe n'ababuuza nti Kkubo ki lyakutte nga addayo? Batabani be baali balabye ekkubo omusajja wa Katonda eyava mu Yuda lyeyakwata.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitaabwe n'ababuuza nti: “Kkubo ki ly'akutte ng'addayo?” Batabani be baali balabye ekkubo omusajja wa Katonda eyava e Buyudaaya lye yakwata.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitaabwe n'abagamba nti Kkubo ki mw'afulumidde? Awo batabani be nga balabye ekkubo ly'afulumiddemu omusajja wa Katonda eyava mu Yuda.