1 Kings 13:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yawondera omuntu wa Katonda, n'amusanga ng'atudde wansi w'omuvule, n'amubuuza nti: “Ggwe muntu wa Katonda eyavudde mu Yuda?” N'ayanukula nti: “Ye nze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’akwata ekkubo omusajja wa Katonda lye yali akutte. Yamusanga atudde wansi w’omwera, n’amubuuza nti, “Gwe musajja wa Katonda eyavudde e Yuda?” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agoberera omusajja wa Katonda n'amusanga ng'atudde wansi w'omwera: n'amubuuza nti Ggwe musajja wa Katonda eyava mu Yuda? N'amuddamu nti Ye nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'awondera omusajja wa Katonda, n'amusanga ng'atudde wansi w'omuvule. N'amubuuza nti: “Ggwe musajja wa Katonda eyava mu Buyudaaya?” Oli n'amuddamu nti: “Ye nze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agoberera omusajja wa Katonda n'amusanga ng'atudde wansi w'omwera: n'amugamba nti Ggwe musajja wa Katonda eyava mu Yuda? N'ayogera nti Nze nzuuyo.