1 Kings 13:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga ekigambo ky'Omukama ky'aŋŋambye nti: ‘Mu kifo ekyo tolyayo emmere oba okunywayo amazzi, era ekkubo ly'okutte amagenda toliddiramu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndagiddwa ekigambo kya Mukama nti, ‘Toteekwa kulyayo ku mmere newaakubadde okunywayo amazzi, wadde okuddirayo mu kkubo lye wajjiddemu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Mukama yandagira nga agamba nti Tolya ku mmere, tonywayo mazzi era tokomerawo mu kkubo ly'ogendeddemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama yannumiriza ng'agamba nti: ‘Tolyayo mmere wadde okunywayo amazzi, era bw'oba ovaayo, toyita mu kkubo lye wayitamu ng'ogendayo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga nabuulirwa n'ekigambo kya Mukama nti Tolya ku mmere so tonywerayo mazzi so tokyuka nate okudda mu kkubo mw'ofulumidde.