1 Kings 13:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi n'amugamba nti: “Nange ndi mulanzi, nga naawe bw'oli; nange mu kigambo ky'Omukama malayika yayogedde nange n'agamba nti: ‘Muleete, mujje mwembi ewuwo, alye ku mmere, anywe ne ku tuzzi.’ ” Naye yali amulimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nnabbi omukadde n’amuddamu nti, “Nze nange ndi nnabbi nga ggwe. Era malayika yaŋŋambye ekigambo kya Katonda nti, ‘Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe ne ku mazzi.’ ” Naye yali amulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nnabbi omukadde ow'e Beseri n'amugamba nti Nange ndi nnabbi nga ggwe bw'oli; era malayika aŋŋambye n'ekigambo kya Mukama nti Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe amazzi. Naye ng'amulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omulanzi omukadde ow'e Beteli n'amugamba nti: “Nange ndi mulanzi nga ggwe. Mukama yalagidde malayika n'aŋŋamba nti: ‘Mukomyeewo, ajje mu nnyumba yo, alye ku mmere era anywe ku mazzi.’ ” Sso ng'amulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'amugamba nti Nange ndi nnabbi nga ggwe bw'oli; era malayika aŋŋambye n'ekigambo kya Mukama nti Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe amazzi. Naye ng'amulimba.