1 Kings 13:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayogera mu ddoboozi ddene ng'avumirira mwaliiro ng'Omukama bwe yali amugambye nti: “O, Mwaliiro! O, Mwaliiro! Omukama kino ky'agamba: ‘Mu nnyumba ya Dawudi mujja kuzaalibwamu omwana, erinnya lye Yosiya; ku ggwe alitambiririrako bakabona b'oku bifo ebigulumivu abakutambiririrako kati, era ku ggwe kulyokerwako amagumba g'abantu’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri ekyoto olw’ekigambo kya Mukama ng’agamba nti, “Ayi ekyoto, ekyoto! Kino Mukama ky’agamba nti, ‘Omwana erinnya lye Yosiya alizaalibwa mu nnyumba ya Dawudi, ku ggwe kw’aliweerayo bakabona ab’ebifo ebigulumivu ng’ebiweebwayo era n’amagumba g’abantu galyokerwa ku ggwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omusajja wa Katonda n'ayogerera waggulu ku kyoto olw'ekigambo kya Mukama n'ayogera nti Ggwe ekyoto, ekyoto, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, omwana erinnya lye Yosiya alizaalibwa mu nnyumba ya Dawudi; ku ggwe kw'alittira bakabona b'ebifo ebigulumivu eby'okunsozi, abakunyookerezaako obubaane. Era amagumba g'abafu galyokerwa ku ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja oyo, ng'akolera ku ekyo Mukama kye yamulagira, n'akolimira alutaari eyo ng'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Alutaari ggwe, alutaari ggwe, Mukama agamba nti: ‘Laba eno: omwana alizaalirwa ennyumba ya Dawudi, erinnya lye Yosiya, ku ggwe kw'alittira bakabona b'ebifo ebigulumivu eby'oku busozi, abakunyookerezaako obubaane. Era amagumba g'abafu galyokerwa ku ggwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayogerera waggulu ku kyoto olw'ekigambo kya Mukama n'ayogera nti Ai ekyoto, ekyoto, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, omwana alizaalirwa ennyumba ya Dawudi, erinnya lye Yosiya; era ku ggwe kw'aliweerayo bakabona b'ebifo ebigulumivu abootereza obubaane ku ggwe, era baliweerayo ku ggwe amagumba g'abantu.