1 Kings 13:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba n'eddoboozi ddene omuntu wa Katonda eyali avudde mu Yuda nti: “Kino ky'agamba Omukama: Kubanga wajeemedde ekigambo ky'Omukama, n'otokwata kiragiro Omukama Katonda wo kye yakulagira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri omusajja wa Katonda eyava mu Yuda nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ojeemedde ekigambo kya Mukama era tokuumye kiragiro Mukama Katonda kye yakulagidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muddoboozi ery'omwanguka, n'agamba omusajja wa Katonda eyava mu Yuda nti Mukama agamba nti Nga bw'ojeemedde kye nakugamba Nze Mukama, Katonda wo, n'otokola kye nnakulagira,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu ddoboozi ery'omwanguka, n'agamba omusajja wa Katonda eyava mu Buyudaaya nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga bw'ojeemedde kye nakugamba Nze Mukama, Katonda wo, n'otokola kye nakulagira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogerera waggulu eri omusajja wa Katonda eyava mu Yuda ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga ogaanyi okuwulira akamwa ka Mukama so tokutte kiragiro Mukama Katonda wo ky'akulagidde,