1 Kings 13:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'okomawo n'olya emmere n'amazzi n'onywa mu kifo kino kye yakugambako nti: ‘Tolya emmere era tonywa amazzi,’ awo nno omulambo gwo teguliziikibwa mu ntaana ya bajjajjaabo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wakomyewo n’olya emmere era n’onywa amazzi mu kifo kye yakugaanye okulyamu wadde okunywamu amazzi. Noolwekyo omulambo gwo teguliziikibwa mu ntaana ya bajjajjaabo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye n'okomawo, n'olya emmere era n'onywa amazzi mu kifo kye nnakugambako nti tolyayo mmere era tonywayo mazzi, omulambo gwo teguliziikibwa wamu ne bajjajjaabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye n'okomawo, n'olya emmere era n'onywa amazzi mu kifo kye nakugambako nti tolyayo mmere era tonywayo mazzi, omulambo gwo teguliziikibwa ku biggya bya bajjajjaabo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye n'okomawo, era oliiridde ku mmere n'onywera amazzi mu kifo ky'akugambyeko nti Toliirayo ku mmere so tonywa mazzi: omulambo gwo tegulituuka mu ntaana ya bajjajjaabo.