1 Kings 13:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu abaayita ekkubo eryo bwe baalaba omulambo nga gusuuliddwa mu kkubo n'empologoma ng'eyimiridde kumpi nagwo, ne bagenda ne babuulira ab'omu kibuga omulanzi omukadde mwe yabeeranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, abantu abamu abaalaba omulambo nga gusuuliddwa wansi, nga n’empologoma eyimiridde kumpi nagwo, ne bagenda mu kibuga nnabbi mwe yabeeranga ne bategeeza abaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, abantu ne bayitawo ne balaba omulambo nga gusuuliddwa mu kkubo n'empologoma ng'eyimiridde kumpi n'omulambo: ne bagenda ne bakibuulira abantu ab'omu kibuga nnabbi omukadde mwe yabeeranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abaali bayitawo ne balaba omulambo nga gugaŋŋalamye ku kkubo, n'empologoma ng'eyimiridde kumpi nagwo. Ne bagenda ne bakibuulira abantu ab'omu kibuga, omulanzi omukadde mw'abeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, abantu ne bayitawo ne balaba omulambo nga gusuuliddwa mu kkubo n'empologoma ng'eyimiridde kumpi n'omulambo: ne bajja ne bakibuulira mu kibuga nnabbi omukadde mwe yabeeranga.