1 Kings 13:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi eyali amukomezzaawo okuva mu lugendo lwe bwe yakiwulira, n'agamba nti: “Ye muntu wa Katonda eyajeemera ekigambo ky'Omukama. Omukama amugabudde empologoma; emutaaguddetaagudde n'emutta ng'Omukama bwe yabadde amugambye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnabbi eyali amukomezzaawo bwe yakiwulira n’ayogera nti, “Ye musajja wa Katonda ataagondedde kigambo kya Mukama. Mukama amuwaddeyo eri empologoma emutaagudde n’emutta, ng’ekigambo kya Mukama bwe ky’amulabudde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnabbi omukadde eyamukomyawo, bwe yakiwulira, n'agamba nti ye musajja wa Katonda eyajeemedde ekiragiro kya Mukama: Mukama kyavudde amugabula eri empologoma emutaagudde n'emutta ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kyeyamugamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulanzi eyali asanze mu kkubo omusajja wa Katonda n'amukomyawo, bwe yakiwulira, n'agamba nti: “Ye musajja wa Katonda eyajeemedde Mukama kye yamulagira, Mukama n'amuwaayo, empologoma n'emutaagula n'emutta, ne kiba nga Mukama bwe yamugamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nnabbi amukomezzaawo mu kkubo bwe yakiwulira, n'ayogera nti Ye musajja wa Katonda ataagondedde kamwa ka Mukama: Mukama kyavudde amugabula eri empologoma emutaagudde n'emutta ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali ky'amugambye.