1 Kings 13:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi omukadde n'asitulawo omulambo gw'omuntu wa Katonda, n'agussa ku ndogoyi, n'agukomyawo mu kibuga kye okumukungubagira n'okumuziika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnabbi n’asitula omulambo gw’omusajja wa Katonda n’aguteeka ku ndogoyi, era n’aguzzaayo mu kibuga kye n’amukungubagira, omulambo n’aguziika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnabbi omukadde n'asitula omulambo gw'omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n'aguteeka ku ndogoyi n'aguzzaayo mu kibuga Beseri: okugukungubagira n'okuguziika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulanzi n'asitula omulambo gw'omusajja wa Katonda, n'aguteeka ku ndogoyi, n'akomawo nagwo mu kibuga, okukungubaga n'okuguziika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnabbi n'asitula omulambo gw'omusajja wa Katonda n'aguteeka ku ndogoyi n'aguzzaayo: nnabbi omukadde n'akomawo mu kibuga okukungubaga n'okumuziika.