1 Kings 13:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tewali kuwannaanya, ekigambo kye yalanga mu kigambo ky'Omukama ng'avumirira omwaliiro mu Beteli n'ebiggwa mu bifo ebigulumivu mu bibuga by'e Samariya ddala kigenda kutuukirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo kya Mukama, omusajja wa Katonda kye yayogera n’eddoboozi ery’omwanguka ku kyoto ekiri mu Beseri ne ku masabo ag’ebifo ebigulumivu ebiri mu bibuga eby’e Samaliya, tekirirema kutuukirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekigambo omusajja wa Katonda kyeyayogerera waggulu ku kyoto e Beseri, ne ku nnyumba zonna ez'ebifo ebigulumivu ebiri mu bibuga eby'e Samaliya tekirirema kutuukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bye yamulagira okwogera n'avumirira alutaari eri mu Beteli, n'amasabo gonna ag'omu bifo ebigulumivu eby'oku busozi ebiri mu bibuga by'e Samariya, tebirirema kutuukirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekigambo kye yayogerera waggulu olw'ekigambo kya Mukama ku kyoto ekiri mu Beseri ne ku nnyumba zonna ez'ebifo ebigulumivu ebiri mu bibuga eby'e Samaliya tekirirema kutuukirira.