1 Kings 13:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo ne bwe byagwaawo, Yerobowamu teyaleka n'akatono makubo ge mabi, wabula yagenda mu maaso n'okulondera ebifo ebigulumivu bakabona ng'amala gabaggya mu buli bantu. Buli eyayagalanga okufuuka kabona, ng'amusiiga omuzigo n'amufuula kabona w'ebifo ebigulumivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ekigambo ekyo Yerobowaamu n’atakyuka kuleka amakubo ge amabi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab’ebifo ebigulumivu ng’abaggya mu bantu abaabulijjo. Buli eyayagalanga okubeera kabona, n’amwawulanga okubeera mu bifo ebigulumivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ekigambo ekyo Yerobowaamu n'atakyuka okuleka ekkubo lye ebbi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu ng'abaggya ku bantu bonna: buli eyayagalanga, n'amwawulanga nnamussaawo okuba kabona mu kifo ekigulumivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byamala okubaawo, Yerobowaamu teyakyuka kulekayo mpisa ze embi, wabula ne yeeyongera bweyongezi okussaawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu eby'oku busozi ng'abaggya mu bantu abaabulijjo. N'ayawulanga buli muntu eyayagalanga okwawulibwa, n'aba omu ku bakabona ab'ebifo ebigulumivu eby'oku busozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ekigambo ekyo Yerobowaamu n'atakyuka okuleka ekkubo lye ebbi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu ng'abaggya ku bantu bonna: buli eyayagalanga, n'amwawulanga wabeerewo bakabona b'ebifo ebigulumivu.