1 Kings 13:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka bwe yawulira ekigambo ky'omuntu wa Katonda kye yalomera omwaliiro e Beteli, n'agolola omukono ng'ayima ku mwaliiro n'agamba nti: “Mumukwate.” Naye omukono gwe gwe yali amugololedde, ne gukala, nga tasobola kuguzza gy'ali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Yerobowaamu bwe yawulira omusajja wa Katonda bye yayogera, n’ayogera n’eddoboozi eddene ku kyoto e Beseri ng’awanise omukono gwe mu maaso g’ekyoto nti, “Mumukwate!” Omukono gwe yawanika eri omusajja wa Katonda ne gukala ne gukalambalirayo n’okuyinza n’atayinza kuguzza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ekigambo eky'omusajja wa Katonda kye yayogerera waggulu ku kyoto mu Beseri, awo Yerobowaamu n'agolola omukono gwe ng'ayima awali ekyoto ng'ayogera nti Mumukwate. N'omukono gwe yagololera omusajja wa Katonda negukalambala, n'atayinza kuguzza nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, Kabaka Yerobowaamu bwe yawulira ekyo omusajja wa Katonda ky'ayogedde mu ddoboozi ery'omwanguka okuvumirira alutaari mu Beteli, n'agolola omukono ng'asinziira ku alutaari, n'alagira nti: “Mumukwate!” Amangwago omukono gw'amugololedde ne gukakanyala, n'atayinza na kuguzza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ekigambo eky'omusajja wa Katonda kye yayogerera waggulu ku kyoto mu Beseri, awo Yerobowaamu n'agolola omukono gwe ng'ayima awali ekyoto ng'ayogera nti Mumukwate: N'omukono gwe gw'amugololedde ne gukala n'okuyinza n'atayinza kuguzza nate.