1 Kings 13:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba omuntu wa Katonda nti: “Negayiririra ew'Omukama Katonda wo, onsabire omukono gwange gunzirizeewo.” Omusajja ne yeegayirira Omukama, omukono gwa kabaka ne gumudizibwawo, ne guddayo nga bwe gwali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka n’agamba omusajja wa Katonda nti, “Negayiririra Mukama Katonda wo, onsabire omukono gwange guwonyezebwe.” Omusajja wa Katonda n’amwegayiririra eri Mukama, omukono gwe ne guddawo nga bwe gwali olubereberye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'addamu n'agamba omusajja wa Katonda nti Weegayirire nno ekisa kya Mukama Katonda wo onsabire omukono gwange guwone. Omusajja wa Katonda ne yeegayirira Mukama, omukono gwa kabaka ne guwona ne guddawo nga bwe gwali olubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Yerobowaamu n'agamba omusajja wa Katonda nti: “Weegayirire Mukama, Katonda wo, onsabire, omukono gwange guwone.” Omusajja wa Katonda ne yeegayirira Mukama, omukono gwa kabaka ne guwona, ne guddawo mu mbeera yaagwo eya bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'addamu n'agamba omusajja wa Katonda nti Weegayirire nno ekisa kya Mukama Katonda wo onsabire omukono gwange gumponyezebwe nate: Omusajja wa Katonda ne yeegayirira Mukama, omukono gwa kabaka ne gumuwonyezebwa nate ne gufuuka nga bwe gwali olubereberye.