1 Kings 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba omuntu wa Katonda nti: “Jjangu tugende eka wezzeemu ku ndasi, nzija kukuwa n'ekirabo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’agamba omusajja wa Katonda nti, “Jjangu eka ewange obeeko ky’olya, n’okukuwa nkuweeyo ekirabo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'agamba omusajja wa Katonda nti Tugende ffenna eka, owummuleko, olye ku mmere era nkuwe ekirabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba omusajja wa Katonda nti: “Tugende ffenna eka, owummuleko, era nkuwe ekirabo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'agamba omusajja wa Katonda nti Tuddeyo nange eka oweereweere, nange naakuwa empeera.