1 Kings 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu wa Katonda n'ayanukula kabaka nti: “Ne bw'onooba wa kumpa kyakubiri kya lubiri lwo, sijja kugenda naawe, sijja kulya mmere, yadde okunywa amazzi mu kifo kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omusajja wa Katonda n’agamba kabaka nti, “Ne bw’onompa ekitundu ky’obugagga bwo, sijja kugenda naawe, wadde okulya omugaati oba okunywa amazzi wano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja wa Katonda n'agamba kabaka nti Newakubadde ng'onompa ekimu eky'okubiri ekyo buggagga bwo, sijja kuyingira mu nnyumba yo, sijja kulya mmere, so sijja kunywa mazzi mu kifo kino:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja wa Katonda n'agamba kabaka nti: “Ne bw'onompa ekimu ekyokubiri eky'obugagga bw'omu lubiri lwo, sijja kuyingira wamu naawe, era sijja kulya mmere wadde okunywa amazzi mu kifo kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja wa Katonda n'agamba kabaka nti Newakubadde ng'onompa ekitundu ky'ennyumba yo, siyingire wamu naawe so siiriire mmere so sinywere mazzi mu kifo kino: