1 Kings 13:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nalagiddwa ntyo mu kigambo ky'Omukama ekyandagidde nti: ‘Tolya mmere yadde okunywa amazzi; era ekkubo ly'okutte amagenda, toliddiramu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nkuutiddwa ekigambo kya Mukama nti, ‘Tolya mugaati newaakubadde okunywa amazzi wadde okuddira mu kkubo ly’ojjiddemu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Mukama yankuutidde ng'ayogera nti Tolya emmere, tonywa mazzi so toddirayo mu kkubo lye wajjiddemu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bw'atyo bw'andagidde nti: ‘Tolyayo mmere wadde okunywayo amazzi, era toddira mu kkubo lye wakutte ng'ogendayo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga bwe nkuutiddwa bwe ntyo n'ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Tolya mmere so tonywa mazzi so toddayo mu kkubo ly'ofulumyemu.

Recommended Reading