1 Kings 14:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ensonga eyo nzija kukola ennyumba ya Yerobowamu akabi. Nzija kukutulako buli ayitibwa omusajja mu nnyumba ya Yerobowamu, abeere muddu oba omwana ow'eddembe mu Yisirayeli; nzija kwokya mmalewo ennyumba ya Yerobowamu ng'obusa bwe bwokebwa okutuusa nga busirisse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ng’omuntu bw’ayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale, laba, kyendiva ndeeta ekibi ku nnyumba ya Yerobowaamu era ndimalawo buli mwana ow'obulenzi eri Yerobowaamu, asibiddwa era n'atasibiddwa mu Isiraeri, era ndyerera ddala ennyumba ya Yerobowaamu ng'omuntu bw'ayera obusa n'okuggwaawo ne buggwaawo bwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo nja kutuusa akabi ku b'ennyumba yo ggwe Yerobowaamu, mmalirewo ddala mu Yisirayeli buli wa lulyo lwo ow'obulenzi, omuto n'omukulu, era ndyererawo ddala ab'ennyumba yo, ggwe Yerobowaamu, ng'omuntu bw'ayerawo obusa okutuusa lwe buggwaawo bwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)