1 Kings 14:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abava mu Yerobowamu abaliba bafiiridde mu kibuga, embwa ziribakavvula, abaliba bafiiridde ku ttale ebinyonyi by'omu bbanga biribalya, kubanga Omukama ayogedde.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna aba Yerobowaamu abalifiira mu kibuga, embwa zirirya emirambo gyabwe, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirirya egy’abo abalifiira ku ttale, kubanga Mukama y’akyogedde!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Owa Yerobowaamu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga: kubanga Mukama akyogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Owuwo ggwe Yerobowaamu anaafiira mu kibuga, embwa zinaamulya, n'anaafiira ku ttale ebinyonyi binaamulya. Mukama ye ayogedde.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Owa Yerobowaamu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga: kubanga Mukama akyogedde.