1 Kings 14:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yenna ajja kumukungubagira, amuziike. Ku bava mu Yerobowamu, oyo yekka y'aliziikibwa mu ntaana, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowamu Omukama Katonda wa Yisirayeli mwe yasanga ekimusanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri yonna banaamukaabira era ne bamuziika. Ye yekka ow’ennyumba ya Yerobowaamu aliziikibwa, kubanga ye yekka mu nnyumba ya Yerobowaamu Mukama Katonda wa Isirayiri, gw’alabyemu akalungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale Isiraeri yenna balimukungubagira ne bamuziika; kubanga ku ba Yerobowaamu oyo yekka ye alituuka mu ntaana: kubanga mu ye mulabise ekigambo ekirungi eri Mukama Katonda wa Isiraeri mu nnyumba ya Yerobowaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna mu Yisirayeli bajja kumukungubagira, bamuziike. Ku ba Yerobowaamu, oyo yekka ye ajja okuziikibwa kubanga mu nnyumba ya Yerobowaamu, oyo ye asangiddwamu akalungi akasiimibwa Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)