1 Kings 14:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ajja kukuba Yisirayeli, abeere ng'olumuli bwe luyuuga mu mazzi; ajja kusimbula Yisirayeli mu nsi eno ennungi gye yawa bajjajjaabwe, abasaasaanyize emitala w'Omugga, kubanga baanyiiza Omukama nga beekolera empagi za Asera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama aliva ku Isirayiri, abeere ng’ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi, era alisimbula Isirayiri okubaggya mu nsi eno ennungi eya bajjajjaabwe, n’abasaasaanyiza emitala w’Omugga, kubanga baasunguwaza Mukama bwe baakola bakatonda Baaseri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama alikuba Isiraeri ng'ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi; era alisimbula Isiraeri okubaggya mu nsi eno ennungi gye yawa bajjajjaabwe, era alibasaasaanyiza emitala w'Omugga; kubanga bakoze Baaseri baabwe, nga basunguwaza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ajja kubonereza Yisirayeli ng'engezi bw'enyeenya ekitoogo mu mazzi, era aliggya Abayisirayeli mu nsi eno ennungi gye yawa bajjajjaabwe, abasaasaanyize emitala w'Omugga Ewufuraate, kubanga bamusunguwazizza nga beekolera ebifaananyi bya Asera, lubaale omukazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)