1 Kings 14:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Yerobowamu, entabaalo ze, ne nga bwe yafuga, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu, entalo ze, n’okufuga kwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu bwe yalwana era bwe yafuga, laba, byawandiikibwa mu Kitabo eky'Eby'omumirembe gya Bassekabaka ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Yerobowaamu bye yakola, entalo ze yalwana, n'engeri gye yafugamu, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu bwe yalwana era bwe yafuga, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.