1 Kings 14:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yerobowamu n'agamba mukazi we nti: “Situka, weebuzeebuze nga totegeerekeka nti ggwe muka Yerobowamu, ogenda mu Silo; omulanzi Akiya abeera eyo, oyo eyaŋŋamba nti nzija kubeera kabaka w'abantu bano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yerobowaamu n’agamba mukyala we nti, “Golokoka ogende e Siiro, nga weefuddefudde baleme kumanya nga bw’oli mukazi wa Yerobowaamu. Akiya nnabbi, eyanjogerako nti ndiba kabaka w’abantu bano ali eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yerobowaamu n'agamba mukazi we nti Golokoka, nkwegayiridde weefuule oleme okumanyibwa nga ggwe mukazi wa Yerobowaamu: ogende e Siiro; laba, Akiya nnabbi ali eyo eyanjogerako nga ndiba kabaka w'abantu bano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yerobowaamu n'agamba mukyala we nti: “Situka, weebuzeebuze oleme kumanyika nti ggwe muka Yerobowaamu, ogende e Siilo. Eyo ye wali Ahiya, omulanzi eyaŋŋamba nti ndiba kabaka w'abantu bano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)