1 Kings 14:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rekobowamu, mutabani wa Solomoni ye yali kabaka mu Yuda. Rekobowamu yafuuka kabaka nga wa myaka ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yeruzaalemu, ekibuga Omukama kye yalonda mu bika byonna ebya Yisirayeli gy'aba ateeka erinnya lye. Nnyina yali ayitibwa Naama, nga Mwammoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n’alya obwakabaka bwa Yuda, ng’alina emyaka amakumi ana mu gumu. Yafugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri olw’erinnya lye. Nnyina yayitibwanga Naama, Omwamoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n'afuga mu Yuda. Lekobowaamu yali yaakamaze emyaka ana mu gumu (41) bwe yalya obwakabaka, n'afugira emyaka kkumi na musanvu (17) mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n'erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rehobowaamu mutabani wa Solomooni yafuuka kabaka wa Buyudaaya nga wa myaka amakumi ana mu gumu, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemu, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bibuga byonna eby'Ebika bya Yisirayeli okumusinzizangamu. Nnyina Rehobowaamu yali Naama, nga Mwammoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n'afuga mu Yuda. Lekobowaamu yali yaakamaze emyaka ana mu gumu bwe yalya obwakabaka, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n'erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni.