1 Kings 14:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda n'akola ekibi mu maaso g'Omukama; basiikuula obuggya bw'Omukama n'ebyonoono byabwe okusinga ne bajjajjaabwe bwe baali bakoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, okusinga ne bajjajjaabwe bye baakola era ebibi byabwe ne bikwasa Mukama obuggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda n'akola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi; ne bamukwasa obuggya olw'ebibi byabwe bye baakola okusinga byonna bajjajjaabwe bye baakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Buyudaaya ne bakola ebibi ebisinga ebya bajjajjaabwe bonna bye baakola, ne banyiiza Mukama, ne bamusunguwaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'akola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi; ne bamukwasa obuggya olw'ebibi byabwe bye baakola okusinga byonna bajjajjaabwe bye baakola.